Call us at 0775450028
E-mail: info@abasomi.com

Ebikokyo - Koi Koi??

Showing 21-33 of 33 items.

Asiiba yeekutte mu kiwato..........

Omukondo ku kikopo.

Alindabira Bena ndimuweera..........

Eriiso ly'enkukunyi.

Asula mu lubiri luzimbire..........

Olulimi.

Atambula bamulya..........

Ekiryo.

Atali mukyenkye ekyakuleeta mu bakyenkye kiki..........

Etteete mu lusuku.

Ayonseza mu nkwawa..........

Ekinyira.

Ava mu ttaka nga yeetisse

Akatiko.

Ava munju nga yeesabise ebiso..........

Ennaanansi.

Ayambala buziina naye anyirira..........

Enkoko.

Bakazi bange bwe mbakuba bakaabira kumu..........

Enkuyege.

Bamubikira kwa kyanda akaaba kwa nkuba

Ekikere.

Banziringula ne bankuba empi..........

Akawunga mu seeppiki.

Bamulyako ennyama atambuza ggumba..........

Ebisige.

Our Partners